Ezekiel 43:10-11

10 a“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bannyonnyole endabika ya yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw’ebibi byabwe. 11 bBwe balikwatirwa ensonyi olw’ebyo byonna bye baakola olibategeeza eyeekaalu bw’efaanana, okutegekebwa kwayo, awafulumirwa n’awayingirirwa, n’ekifaananyi kyayo yonna, era n’ebiragiro byamu n’amateeka gaamu. Obiwandiikire mu maaso gaabwe babeere beesigwa okukuuma ebiragiro byamu.

Copyright information for LugEEEE